Amawulire

Ebisomesebwa eri abayizi abali ku mugavu bijja mu ssabiiti 2

Ebisomesebwa eri abayizi abali ku mugavu bijja mu ssabiiti 2

Ivan Ssenabulya

October 2nd, 2021

No comments

Bya Damali Mukhaye,

Minisitule eye byenjigiriza etegezeza nga ekitundu ekyokusatu ekyokutuusa ebisomesebwa eri abayizi abali ku muggalo entekateeka ziwedde bakubifuna mu bwangu.

Bino byogeddwa minisita we byenjigiriza Janet Museveni, agambye nti mu kitundu ekyasooka gavt yafulumya obuwumbi 6 mu kugulira abayizi ebisomesebwa bya bayizi abali ewaka wabula tebyamala.

Era nga gavt yakwata ku buyambi okuva ebweru bwa euro 1.7M nekubisa waaka wa bayizi koopi 27,300 eri aba primary ne koopi 5,124 eri aba-secondary mu mwezi gwokuna omwaka guno.

Janet agamba nti abatafuna babafunidde ensimbi obuwumbi 38.8 zikubise koopi ezigenda okubasindikirwa mu ssabiiti 2 ezijja mu maaso.

Ono asabye abayizi na bazadde okukwta a waaka ono obulungi kuba atutte buwanana okumufuna.