Amawulire

Ebisale by’okusoma bakufanagana mu East Africa

Ali Mivule

August 7th, 2014

No comments

Alupo in class

Amatendekero gonna agawaggulu mu mawanga ga East Africa gakubeera n’ebisale nga bifanagana.

Kino kyatuukiddwaako abakulembeze b’amawanga gano abasisinkanye mu kibuga Kigali ekya Rwanda

Kino era kyakoleddwa okutumbula omutindo gw’ebyenjigiriza mu mawanga gonna.

Minisita w’ebyenjigiriza Jessica Alupo agambye nti Uganda tesobola kwewaggula nti yyo ebeere n’ebisale byaayo nga y’ensonga lwaki yakugoberera