Amawulire

Ebisale byamazzi biri waggulu

Ebisale byamazzi biri waggulu

Ivan Ssenabulya

March 21st, 2021

No comments

Bya Ivan senabulya

Ababaka ba palament abatuula ku kakiiko akavunanyizibwa ku by’obuyonjo, Parliamentary Forum on Water and Sanitation, balaze obwerarikirivu olw’ebisale by’amazzi ebiri waggulu.

Kati basubizza nti bagenda kuteeka palamenti ku ninga okukola ekisoboka okukendeza ku bisale byamazzi.

Ababaka bano nga bali wamu n’ekitongole kya Water Aid ne municipal ye Nansana, baakoze bulungi bwansi okwetoolola Nabweru omwabadde n’okutongoza kabuyinjo empya ku ddwaliro lya Nabweru Health Center lll ezazimbiddwa aba Water Aid, ku nkomerero ya wiiki ewedde.

Bano babadde bakulembeddwamu Jova Kamateeka omubaka we Mitooma.

Meeya wa Nansana, Regiina Bakitte, agambye nti kabuyonjo mu Nansana kukyali kusomooza kunene naddala ezolulale, olwobungi bwabantu.