Amawulire

Ebikujuko byámazaalibwa ga Kabaka byongezedwayo

Ebikujuko byámazaalibwa ga Kabaka byongezedwayo

Ivan Ssenabulya

April 11th, 2022

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Obwakabaka bwa Buganda bwongezaayo ebikujuko ebyokujaguza amazaalibwa gomutanda ogomwaka guno olwensonga ezitebereka.

Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga yategezeza obuganda amawulire gano mu lukungana lwa banamawulire olutudde olwaleero e Bulange e Mengo, mwategereza okukuza amazalibwa gano kuyimirizidwa olw’ensonga nti Nnyinimu akyaali mitala wa Mayanja ku mirimu emitongole.

Mungeri yeemu Katikkiro atagezeza obuganda nti n’enteekateeka y’emirinde gya mazalibwa g’omutanda nayo eyongezedwayo olw’ensonga yeemu ate nga n’emijoozi gyatuuse kikerezi.