Amawulire

Ebikolwa byókukusa abantu byéyongedde

Ebikolwa byókukusa abantu byéyongedde

Ivan Ssenabulya

April 29th, 2022

No comments

Bya Juliet Nalwooga,

Minisitule eyensonga ezomunda mu ggwanga egamba nti ebikolwa ebyokukukusa abantu byeyongedde.

Bano bagamba nti baafuna emisango mu mwaka gwa 2021, 421 okuva ku 214 gyebafuna mu 2020 nga kino kitegeeza nti ebikolwa byokukusa abantu byeyongedde ne bitundu 97%

Bwabadde atongoza alipoota efulumizibwa buli mwaka ku bantu abakukusibwa, Joseph Musanyufu omuwandiisi ow’enkalakalira mu minisitule eyensonga ezomunda asabye buli muntu okwenyigira mu lutalo olwokumalawo embeera eyokukukusa abantu.