Amawulire

Ebigezo bya siniya y’omukaaga bikyaali

Ali Mivule

March 25th, 2014

No comments

Mande, Alupo and Bukenya

N’okutuusa kati ekitongole ky’ebyebigezo tekinamanya ddi lwekigenda kufulumya byaava mu bigezo bya siniya ey’omukaaga.

Wiiki ewedde sabawandiisi wekitongole kino  Mathew Bukenya yategeeza nga ebibuuzo bino bwebyaali eby’okufuluma ku nkomerero ya wiiki eno.

Wabula kati agamba tebanategeeza minister w’ebyenjigiriza ku nsonga eno nga ate tebanamaliriza nteekateka zonna.

Bukenya agamba bakyasengega marks z’abayizi nga tebanafulumya bigezo bino.