Amawulire

Ebigezo bya Siniya y’okuna bitandise

Ali Mivule

October 13th, 2014

No comments

Examinations begin

Nga abayizi ba siniya ey’okuna batandise ebigezo byabwe ebyakamalirizo enkya ya leero, abakulu b’amassomero wansi w’enkola ya bonna basome eya secondary bakaaba lwansimbi ezirina okubaweebwa okulwayo.

Bano bagamba bukyanga lusoma luno lutandika tebafunanga yadde ennusu ekibawalirizza okwewola okuva mu zi banka kubanga tebalina nsimbi ziddukanya mirimu nga kati amabanja gabali mu bulago.

Ssentebe w’ekibiina ekigatta amasomero g’obwananyini mu bukiika kkono bw’eggwanga  David Bbaale Mukasa agmaba n’abasomesa babanaja misaala gyaabwe kale nga embeera eri bubi nnyo.

Yye Abud Kabugo nga y’akulira essomero lya  Kirimya Senior Secondary School agamba tamanyi oba abayizi be banayita bigezo bya practical kubanga ebikozesebwa tebalina.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *