Amawulire

Ebigezo bya siniya eyokuna bitandise bulungi mu ggwanga lyonna

Ebigezo bya siniya eyokuna bitandise bulungi mu ggwanga lyonna

Ivan Ssenabulya

October 17th, 2022

No comments

Bya Mike Sebalu,

Ekitongole ekivunanyizibwa ku bigezo mu gwanga ki UNEB kitegeezezza ng’ebigezo bya S4 bwebijiddwako akawuwo mu mirembe okwetoloola wonna mu gwanga enkya ya leero.

Abayizi bano batandise n’okubala paper esooka nga ne mu district eziri ku muggalo gwa Ebola eya Kassanda ne Mubende naye embeera etambula bulungi.

Omugatte gw’abayizi emitwalo 34 mu 9455 bebewandiisa okutuula ebigezo bino okwetolola Uganda yonna mu bifo 3,703.

Mu bifo awatuuliddwa ebigezo bino kuliko n’ekomera e Luzira eno ng’abasibe 51 bebatuuliddeyo ebigezo.

Ayogerera ekitongole ki UNEB Janipher Kalule mu kiwandiiko kyafulumizza ettuntu lya leero, ategeezezza nga UNEB bweri okukolaganira awamu n’abatwala eby’okwerinda okwetoloola eggwanga okumalawo ebyo byonna ebiyinza okusomooza.

Agamba nti abakuuma dembe abaweredde ddala 1595, aba scout 1,611 bano begatiddwako ba supervisors ne ba Invigilators emitwalo 2 mu 2214 okuwa obukuumi ebigezo bino okwetoloola eggwanga.

Kinnajjukirwa, ekitongole mu teeka empya elilungamya enkuuma y’ebigezo, kyateekawo ebibonerezo ebikakali eri omuntu yenna anasangibwa nga yenyigira mu mivuyi egyekuusa ku kubba ebigezo omuli  okusibibwa mu komera wakati w’emyaka 5-10 oba okusasula engassi ya bukadde bw’ensi obuli wakati wa 20-40 oba okukola ebibonerezo byonna.