Amawulire

Ebigezo bya S4 byankya, Gavumenti erabudde

Ebigezo bya S4 byankya, Gavumenti erabudde

Ivan Ssenabulya

February 28th, 2021

No comments

Bya Shamim Nateebwa ne Prosy Kisakye

Gavumenti erabudde amasomero, obutagezaako kwetaba mu bikolwa byonna ebyokubba ebigezo.

Olunnaku lwenkya ebigezo ebyakamalirizo ebya S4, bigenda kutandika.

Gavumenti, wabula ezeemu nerabula nti ebikolwa bino basaanye okubyewala, naye baleke abaana bakole ebyo byebamanyi.

Bwabadde ayogera ne bannamawulire, minisita wamawulire era avunayizbwa ku kulungamya egwanga Judith Nabakooba, agambye nti yenna anakwatibwa ngabba ebigezo wakuvunanibwa na mukono gwakyuma.

Okusinziira ku kitongole kyebigezo, bagenda kutandika ne Physics practical kumakya, emisana bakole Fine art.

Mungeri yeemu, ngabayizi mu bibiina ebidiririra ebyakamalirizo bagenda okuddamu okusoma olunnaku lwenkya, abazadde mu kibuga Lira balaze okutya ku bisale byentambula ebirinnye.

Bano bagamba nti waddenga amomero gaguddewo, bandiremererwa okutambuza abaana baawe.

Abamu ku bazadde, okuli Monica Anyinge agambye nti yakozesanga emitwalo 4 okutwala baana be Kampala wabula kati bisale byekubisizaamu emirundi 2 kati batwalira 8.

Kati Benard Anyeko omwogezi wekibiina Lira Urban Transporters, wabula agambye nti babade tebanafuna ntekateeka ezyongeza bisale.

Ate abasubuzi n’abakulembeze mu katale ke Gaba basanyufu n’ekyomukulembeze w’eggwanga okulagira amasomero okuggulawo, olunnaku lwenkya.

Bano bagamba, emirimu gyabwe egy’obusubuzi gisinga kutambulira ku masomero nga batunda enku, ebirime ne caakacakala.

Kati nga bakulembedwamu omumyuka wa sentebbe wakatale kano, Diriisa Walusimbi bategeezezza ngamasomero okuggulawo bwekigenda okubayamba okutumbula eby’enfuna byabwe.