Amawulire

Ebigezo bifulumye, ebya baana lukumi bikwatiddwa

Ali Mivule

February 25th, 2014

No comments

Mande, Alupo and Bukenya

Ebigezo ebikolebwa abayizi ba siniya y’okuna omwaka oguwedde bifulumye.

Kyeyolese bulungi nti abayizi ku luno baakoze bubi bw’ogerageranya omwaka guli

Abayizi emitwaalo ebiri beebayitidde mu ddaala erisooka, ate abayizi emitwalo ena beebayitidde mu ddala ery’okubiri ate ng’abayizi abasoba mu mitwalo ebiri bbo bagudde ebigezo.

Okutwaliza awamu, abaana abawala bakubye banaabwe abalenzi mu ssomo ly’olungereza ne litulica ate abalenzi tebalabye ku bawala mu masomo ga sayansi.

Oluzungu lwelusinze okukolebwa obulungi ate chemistry y’asinze okukolebwa obubi

Bbyo ebigezo by’abayizi abasoba mu 1000 bikwatiddwa lwakubba bigezo.

Omuwandiisi w’ekitongole ky’ebigezo, Mathew Bukenya agamba nti ku luno ebigezo tebyafunibwa kyokka nga abasomesa bayambako abayizi nga batuuse mu bigezo.

Bukenya agambye nti abayizi bangi kyazuuliddwa nti babba ebigezo mu kaseera k’okugolola ebigezo.

Agamu ku masomero agatagenda kufuna bigezo kuliko, Bweyogerere high school, St Eliza SS Jinja, St Balikuddembe SS City School e Nansana, Madina Islamic  n’amalala.

Bwegutuuse ku disitulikiti, Kampala y’ensinze okukola obulungi nekuddako Wakiso, Mukono, Mpigi nga n’endala ezikoze obulungi kuliko Masaka, Mbarara, Ntungamo n’ebirala.

Ate mu zikoze obubi kuliko Kyankwanzi ng’eno omwana omu y’afunye eddaala erisooka, Buduuda ne Kaberamaido

Ng’afulumya ebigezo bino, minisita w’ebyenjigiriza Jessica Alupo agambye nti amasomero gonna agasangiddwa mu kukoppa gagenda kujjibwaako center namba kubanga y’engeri yokka ey’okuyigirizaamu abalala nti okukoppa kubi.

Ate yye Ssentebe w’ekitongole ky’ebigezo, Fagil Mmande agambye nti ekireese ebizibu n’abaana okwongera okugwa beebasomesa obutamanya byebasomesa.

Abazadde abagaala okumanya ebigezo by’abaana baabwe begenda mu bubaka ku ssimu ssaamu UCE lekawo akabanga ssamu Index number osindike ku 6600.