Amawulire

Ebibiina Byo’bwanakyewa Bikyawakanya Ebirime Ebikolerere

Ivan Ssenabulya

July 16th, 2017

No comments

Bya Moses Ndaye

Waliwo ebibiina byobwanakyewa 12 ebivuddeyo okusaba palamenti okuddamu okwkennneya ebbago, erikwata ku birime ebikolerere erya Biotechnology and Biosafety Bill eryomwaka 2012 nga terinayisibwa.

Ku bannakyewa bano kuliko, Action Aid-Uganda, Food Rights Alliance Caritas-Uganda nebiralala nga bgamba abalimi balina okusooka okubebuzaako ku nsonga eno, ngetteeka lino erikyali mu bubage terinayisibwa okufuuka etteeka.

Akulira ebyokukunga abantu mu kibiina kya Action Aid Uganda, Fredrick Kawoya ategezezza nti nensonga enkulu tteeka litekeddwa okumanya obusubuzi, okuli obuguzi nobutunzi bwebirime bino ebikolerere ziyite GMO’s, bunabeera butya naddala okusukka ensalo za Uganda.

Ebbago lino lirubiridde okusaawo enkola ennungamu eyenkozesa yebirime ebikolerere mu gwanga, nga lyayanjulwa mu plalamenti mu mwaka gwa  2012 wabulanga nokutuusa kati terinayisibwa olwokusika omuguwa okuliriko.