Amawulire

Ebbula lyómusaayi likute akati mu ggwanga
Bya Prossy Kisakye,
Minisita owébyóbuwangwa ne kikula kya bantu Peace Mutuzo alaze obwetaavu obwókuteeka ensimbi mu kawefube owokusolooza omusaayi mu ggwanga.
Ono agambvye nti ekirwadde kya covid-19 likoze eddibu ddene nyo mu nsoloooza yómusaayi mu ggwanga ekiviriddeko ebbula lyagwo.
Mutuuzo agamba nti omusaayi kyankizo nyo mu bakyala bémbutto, eri abantu abagenda okulongosebwa na balala nga buli saawa gulina okubaawo.
Ono agambva nti waliwo ne bannauganda abalusudemu akaba olwebbula lyomusaayi.
Okwogera bino abadde atongoza ebikujjuko ebikulembera emikolo egyokukuza olunaku lwa bakyala olubeerawo buli nga 8th March.