Amawulire
Ebbago eryókuzaawo ebisanja pulezidenti byafuga lilinye enkandago
Bya Ivan Ssenabulya,
Omukubiriza wólukiiko lweggwanga olukulu Rebecca Kadaga ayongezayo okukubaganya ebirowoozo ku bbago lye tteeka erirubirira okukola ennongosereza mu ssemateeka erya Constitutional Amendment Bill 2020, okutuusa olunaku lwenkya.
Kino kidiridde palamenti okubugumirira ababaka bwebabadde bateesa ku bbago lino eryaleetebwa omubaka wa Ndorwa East, Wilfred Nuwagaba, nga muno mwemuli okyokuzaawo ekkomo ku bisanja omukulembeze we ggwanga byafuga
Akakiiko ka palamenti akakola ku bya mateeka akakulirwa omunbaka wa West Budama, Jacob Oboth-Oboth agobye ebiteeso bya Niwagaba wabula naleeta ekiteeso emyaka omukulembeze weggwanga na bakungube gye bafuge gilinyisibwe okutuuka ku myaka 7 okuva kwe 5
Wabula ababaka bewunyiza ekiteeso ekyokwongeza pulezidenti emyaka gyafuga gye kyatuuka mu bbago lino
Minisita akola ku byamateeka Ephraim Kamuntu asabye palamenti bamuweeyo akadde baddemu okwetegereza ennongosereza zino
Eyaleeta ebbago lino ayagala pulezidenti afuge ebisanja bibiri byokka ate Entebbe na balala bafuge