Amawulire

Ebago ku myaka gy’omukulembeze we gwanga kati teeka.

Ivan Ssenabulya

January 2nd, 2018

No comments

Bya Ben Jumbe.

Kyadaaki omukulembeze we gwanga YKM tutegeezedwa nga bweyamaze edda okuteeka omukono kubago ly’eteeka ely’okujja ekomo ku myaka gy’omukulembeze we gwanga , kale wetwogerera lino teeka erijuvu.

Twogedeko n’omwogezi wa palamenti  omukulu Cris Obore n’agamba nti president ebago lino yalisaako omukono nga 27 omwezi  oguwedde ogwa December, kale nga  limaze okukomezebwawo ewa-kalanani wa palamenti.

President waakoledde bino nga abantu bangi okuli n’abanadiini babade bamwegayirira ereme kuteeka mukono ku teeka lino kubanga lyabulabe eri egwanga.

Kakano kitegeeza nti president wadembe okufuga okutuusa lw’anaakowa, songa n’ababaka ba palamenti kati bakusigala mu palamenti  okutuusa mu mwaka mu mwaka 2023, sosi 2021 nga bwekibadde kisubirwa.