Amawulire

E Sudan embeera eyongedde okwonooneka

E Sudan embeera eyongedde okwonooneka

Ivan Ssenabulya

April 17th, 2023

No comments

Mu gwanga lya Sudan, emberenge etandise okugaga oluvanyuma lw’amawaliro okutandika okuzitowererwa okujanjaba abalwadde abatuusiddwako ebisago olw’okulwanagana okugenda mu maaso mu gwanga elyo.

Amalwaliro wetwogerera nga eddaggala ligaweddeko ate nga tegakyasobola nakukozesa byuma biyambako abali mu mbeera embi okussa olw’obutabaako masanyalaze.

Eyaliko Minister w’ensonga ez’ebweru e Sudan Mariam Al-Sadiq al-Mahdi agamba nti bannansi e Sudan belaliikirivu olw’obutamanya ekigenda mu maaso mu nsi yabwe gyekigenda kugweera.

Mu buufu bwebumu, Okubwatuka kw’emmundu ez’amaanyi kukyagenda mu maaso n’okuwulirwa mu kibuga ekikulu Khartoum nga n’enkya ya leero zikedde kustokota  wakati w’abannamagye abali mu buyinza n’obubinja bw’abamukwata mundu obuwakanya ekya bano okwelemeza mu buyinza.

Abatuuze mu Kibuga Khatorum kati basiiba mu mayumba nga n’eby’okulya n’okunywa bitandise okubafuukira eby’ekekkwa.

Wano mu Uganda, President Museveni avumiridde enkoze y’eryanyi esukkiridde egenda mu maaso mu gwanga lya Sudan.

Agamba nti ebigenda maaso mu gwanga elyo, biyisa olugaayu n’okunafuya kawefube w’enteseganya ez’ekiwa mirembe ezirudde nga zigenda mu maaso mu gwanga eryo mu myeezi mingi egiyise.

Museveni, nga yali omu ku abo abatabaganyako olutalo lw’e Sudan agamba nti wetagisaawo okuteeka wansi eby’okulwanyisa awatali bukwakulizo wamu n’okuyimbula abo bonna abakwatiddwa mu kiseera kino.

Ono anenyezza abakulembeze ba Sudan olwa kyayise ensobi ezakoleddwa mu bukulembeze ne mu ndowooza.

Mu ngeri yemu, amawanga g’omukago gw’obuvanjuba mu semazinga wa Africa guteekateeka kusindika abakulembeze b’amwanga 3 mu bwangu e Sudan batandike okutabaganya enjuyi zombi eziri mu kugwangana malaka.

Omukago gwa IGAD, eggulo gwatudde negukkanya abakulembeze okuli owa Kenya, South Sudan ne Djibouti babiteekemu engatto okugenda okutandika enteseganya ezo.