Amawulire

E ssembabule abalunzi balajaana kwa Nkwa

E ssembabule abalunzi balajaana kwa Nkwa

Ivan Ssenabulya

October 2nd, 2021

No comments

Bya prossy kisakye,

Abalunzi mu district ye Sembabule balaajanide gavumenti okubaduukirira mu bwangu ebataase ku kizibu kyenkwa

Bano nga bakulembeddwamu Niwatawa Ronald asangibwa kukyalo Kaliza mu mawogola North mu district ye Sembabule baloopede amyuka sentebe wa NRM mu Buganda Kiwanda Suubi mu kawefube gwaliko okulambula abalimi kwosa nabalunzi mu kampeyini ya Kisoboka.

Bano bagambye nti enkwa zino zibaleetedde enddwade endala nyinji nyo mu bisolo byabwe ng’ate byebatunulide okufunamu ekigulira magala edibba.

Kiwanda bano abagumizza nti gavumenti mu kiseera kino etudde okusalawo entono ku bizibu nga bino ebiluma abalimi nabalunzi.