Amawulire

E Rukungiri omukazzi asse bbaawe

E Rukungiri omukazzi asse bbaawe

Ivan Ssenabulya

August 2nd, 2019

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Poliisi mu district ye Rukingiri eriko omukazi gwegalidde, owemyaka 65 nga kgambibwa yayocezza bbaabwe, naamutta.

Omukwate ye Keloy Bamanyisa nga kigambibwa nti yasse bbaabwe Adonia Bamanyisa owemyaka 77, bwebafunyemu obutakanya.

Kigezeddwa nti omukazi yagalidde bbabwe mu kisenge kyabaana namukumirako omuliro.

Ono abaana bwebagezaako okumukomako nti yabatisizatisizza, nabo okubooca.

Omwogezi wa poliisi mu ttunduttundu lya Kigezi Elly Matte akaksizza ettemu lino, ngomulambo gujiddwawo negutwalibwa mu ddwaliro ekkulu e Mbarara okwekebejjebwa nokunonyereza kugenda mu maaso.