Amawulire

E Rubanda abasse omuntu bayiggibwa.

Ivan Ssenabulya

November 27th, 2017

No comments

Bya samuel ssebuliba.

Oyo ye Elli matte ayogerera police ye Kigezi.

Mu district ye Rubanda  Police  eyigga abasajja 3 nga  bano bagambibwa okukakkana ku munaabwe wa myaka 57 n’ebamutta.

Bano bagambibwa  okutta David Bangomwabo  omutuuze we Gwakamu mu gombolola ye  Muko  nebamutematema nga ensonga  zeekusa ku nkayana za taka.

Okunonyereza kwa Police okusooka kulaze nga ono bweyalina enkayana z’etaka nekizibwewe Enock Kwelikweli  , nga ono kigambibwa nti yeyeekobaanye n’abalala okuli  Viane  ne Reuben nebamutta n’oluvanyuma nebaduka.

Ayogerera police yeeno Elli matte agamba nti bano okumutta bamuusanze ava kulunda nte nebamutemako obulago, kyoka akaana keyabede nako ak’emyaka 10 kekaategeezeza abatuuze ebyabadewo.

Mukaseeea kano omuyigo gugenda mu maaso.