Amawulire

E mubende abasobya ku baana bataayaaya.

Ivan Ssenabulya

March 27th, 2018

No comments

Bya Magembe Ssabiiti.

Kansala akikirira egombolola ye Kigando ku lukiiko lwa district ye Mubende Muhwezi Patrick alaze okutya olw’ebikolwa eby’okusobya ku baaba ebyeyongedde mu kitundu kino.

Ono ategezezza nga bwebaze bekubira enduulu eri police ku basajja abasobya ku baana abato wabula nga police ebata awatali kuvunanibwa.

Kati ono ategezezza nga bwebakatwala emisango 5 ku police mubanga etono dala kyoka newatabawo kikolebwa.

kati ono  ayagala wabewo ekikolebwa ku basajja abasobya ku baana.