Amawulire

E Mayuge Omusajja asse abaanabe 2 ate naye ney’etugga

E Mayuge Omusajja asse abaanabe 2 ate naye ney’etugga

Ivan Ssenabulya

August 19th, 2021

No comments

Bya Abubaker Kirunda,

Entiisa ebutikidde abatuuze ku kyalo Bubali mu gombolola ye Kigandalo, mu disitulikiti ye Mayuge, omusajja bweyetuze oluvanyuma lwokutta abaana be babiri.

Abaana bano basangiddwa munda mu nnyumba nga bafu, atenga omulambo gwa kitaabwe guelenjejjera ku muguwa.

Zabina Namutamba, mwanyina womugenzi agamye nti omu ku baana abasimattuse yalabye banne nga tebazukuka akizudde luvanyuma nti baafudde.

Kigambibwa nti omusajja obusungu yabujje ku kuba nti mukyala we, yanoba namulekera abaana bano.

Atwala poliisi ye Mayuge Ronald Tumwebaze akaksizza ettemu lino, ngagambye nti noomu ku baana basse, abadde mujja na nnyina.