Amawulire
E Masaka Dr Abdullah Nkoyoyo agenze mu kooti
Omulamuzi w’eddaala erisooka e Masaka asuubirwa okutandika okuwulira omusango ogwawaabwa abawakanya abyalangirirwa ku kifo ky’omubaka wa Bukoto East.
Munna NRM Dr Abdullah Nkoyoyo nga y’wangulwa yawawabira akakiiko k’ebyokulonda wamu n’eyamuwangula Florence Nmayanja nti baamubba.
Okusinziira ku byalangirirwa akulira eby’okulonda e Masaka Nathan Nabasa, munna DP Florence Namayanja y’awangula n’obululu 16,168 ku bwa Nkoyoyo 15,775.
Eyesimbyewo ku lulwe Kizito Nsubuga y’afunye obululu 506, Justine Nameere n’afuna 134 ne Moses Nsamba nm’abuukayo n’obululu 89 bwokka.
Nkoyoyo ayagala obululu bwonna buddemu okubalibwa mu bifo webalondera 22.
Wabula Namayanja agamba ebyogerwa Nkoyoyo tebirina matu namagulu kubanga foomu zonna ezaliko ebyava mu kubala obululu zatekebwako emikono ba Agenti b’abesimbawo bonna abaakakasa nti ddala ebyava mu kubala obululu byali bituufu.