Amawulire

E Manafwa begugunze

E Manafwa begugunze

Ivan Ssenabulya

April 11th, 2023

No comments

Bya Mike Sebalu. Poliisi mu district y’e Manafwa, egumbuludde abantu mu kitundu ekyo ababadde batandise okwekalakaasa nga bawakanya eky’okukwatibwa era n’okuggalirwa kw’omubaka wabwe omukyaala mu Paalamenti y’eggwanga era Minisita w’ensonga z’e Karamoja Goretti Kitutu.

Okwekalakaasa kuno kubadde kutegekeddwa mu bubuga bubiri okuli ak’e Bubulo ne Butiru.

Minisita Kitutu yakwatibwa sabiiti ewedde natwalibwa mu Kooti eya musindika mu komera e Luzira ku misango gy’okubulankanya amabaati agaali ag’ekitundu kye Karamoja.

Wabula ono nga 12/04/2023 asuubirwa okukomezebwawo mu Court okuwulira ensonga z’okweyimilirwa kwe wezituuse.

Ono yasindikibwa mu komera ne mwanyina bonna nga babalanga emisango gyegimu wabula nga bonna bagyegaana

Kati ayogerera Poliisi mu bitundu bya Elgon Rogers Taitika agamba nti Poliisi ekolaganidde wamu n’ebitongole ebilala ebikuuma dembe okulaba ng’embeera edda mu nteeko.