Amawulire

Ekanisa ya Uganda ewakanyiza ekibonerezo okuwanika omuntu ku kalabba mu tteeka empya

Ekanisa ya Uganda ewakanyiza ekibonerezo okuwanika omuntu ku kalabba mu tteeka empya

Ivan Ssenabulya

May 30th, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Ekanisa ya Uganda eyaniriza omulimu ogukolebwa palamenti nómukulembeze weggwanga okulaba nti Uganda efuna etteeka erirwanyisa obuli bwebisiyaga wabula ewakanyiza ekibonerezo okyókuwanika omuntu kukalaba.

Mu kiwandiiko ekyatereddwako omukono ssabalabirizi we kanisa ya Uganda, Dr. Stephen Samuel Kaziimba Mugalu, yagambye nti musanyufu kuba etteeka lino ligenda kukuuma abaana okuva eri omuzze guno nókukuuma obuwangwa bwa bwano.

Wabula Dr. Kaziimba awakanyiza ekibonerezo okutta omuntu yenna asingisibwa omusango gwokusiyaga omwana atenatuuka, omuntu aliko obulemu ku mubiri, oba okusiiga siriimu oba ekirwadde ekirala omuntu asiyagiddwa.

Ono agambye nti e kanisa ya ewagira obulamu so si kutta era asabye gavumenti wakiri abasingisibwa omusango baweebwe ekibonerezo kya kusibwa mayisa.

Mungeri yemu asabye bannauganda okwekuba mu kifuba beenenye bave mu makubo amabi kuba amateeka gokka tegakola