Amawulire

E Buikwe bakukuluma eddagala lya Covid bafunye tono

E Buikwe bakukuluma eddagala lya Covid bafunye tono

Ivan Ssenabulya

August 12th, 2021

No comments

Bya Ivan Ssenabulya,

Omubaka wa gavumenti mu disitulikiti ye Buikwe, Jane Francis Kagaayi akukulumidde gavumenti olwokubawa eddagala ettono erigema ssenyiga omukambwe.

Agambye nti Buikwe yawereddwa doozi eziri mu 4000, nga lino ttono nnyo okusinziira ku bungi bwabantu abali mu disitulikiti eno, atenga yeemu kuzaasinga okukosebwa COVID-19.

Bino webijidde ngetekateeka zokugema zazeemu, oluvanyuma lwa gavumenti okufuna eddagala.

Wabula akulira ebyobulamu e Buikwe Dr Ricard Bbosa mu mbeera yonna asabye abantu okujumbira okugema.

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *