Amawulire
Dr Ssematiko awawabidde Nsegumire
Bya Barbra Nalweyiso
Munnakibiina kya NUP, eyavuganya ku kifo ky’omubaka wa Mityana North Dr Gordon Ssematiko Katende addukidde mu kkooti enkulu e Mubende okuwakanya obuwanguzi bwa Mohamed Kibedi Nsegumire owa NRM.
Dr Ssematiko ayise mu bannamateeka be aba Lukwago & Co Advocates okugenda mu kkooti enkulu.
Agamba nti munne yamenya amateeka bweyakozesa olulimi oluvuma n’okumukonjera mu balonzi.
Dr Ssematiko era avunaana Kibedi okwekobaana n’akakiiko k’eby’okulonda nebakyusa ebyava mu kulonda mu bitundu ebimu.
Kibedi yalangirirwa ku buwanguzi nobululu emitwalo 3 mu 851 atenga Ssematiko yafuna obululu emitwalo 3 mu 581.