Amawulire

Dr Paul Kawanga Ssemogerere afudde

Dr Paul Kawanga Ssemogerere afudde

Ivan Ssenabulya

November 18th, 2022

No comments

Bya Mike Sebalu ne Ritah Kemigisa,

Waliwo banna kibiina kya Democratic Party abasabye Government okulowooza ku ky’okuziika Dr Paul Kawanga Ssemwogerere mu bitiibwa eby’eggwanga.

Dr Ssemwogerere afudde nga busasaana leero mu maka ge e Lubaga oluvanyuma lw’okukulungula akaseera ng’atawanyizibwa obulwadde obwamuviirako n’okulongoosebwa.

Okusinziira ku w’oluganda lw’Omugenzi John Baptist Kawanga, Dr Kawanga embeera y’obulamu bwe ya tabuse kuviira ddala lunaku lwa ggyo, ekyawalirizza n’omusayo amujanjaba okuyitbwa nga ne nabugi simufungize.

Kati Munna kibiina ki Democratic Party Dr Lulume Bayiga, agamba  nti ku bilungi, Dr Kawanga byakoledde eggwanga, kyekiseera Govermne t emusiime ng’emusiibula n’okuziika okujudde ebitiibwa by’abazira.

Bbo abantu bakyakulumulukuka okugenda mu maka g’omugenzi oluvanyuma lw’amawulire ag’ennaku og’okufa kwe okubatuukako enkya ya leero.

Mu bano mwemubadde ne bannabyabufuzi okuli ne Lord Mayor wa Kampala Erias Lukwago.

Ono asangiddwa mu maka g’omugenzi atubuulidde nga

Bann nktuka kyuka bwebafiiriddwa empagi mu by’obufuzi bya Uganda n’abantu sekinoomu bakutteko mu lutalo olw’okwagala okukyusa obukulembeze bw’eggwanga.

Dr. Ssemwogerere, yazaalibwa 11 February 1932 mu bitundu bya Kalangala District.

Dr. Ssemwogerere, yakulembera ekibiina kya Democratic Party okumalira ddala emyaka 25 era nga amanyiddwa nnyo mu by’obufuzi by’eggwanga elya Uganda.

Dr Ssemwogerere yawummula eby’obufuzi mu mwaka gwa 2005.

Yasomera ku St Henry’s College Kitovu gyeyakolera higher, yAgenda e Makerere gyeyafuna Diploma.

Yabanguka mu by’obufuzi ne mu nteekateeka za Government ku tendekero lya Allegheny College e Pennsylvania.

Mu 1979, Dr Semogerere yafuna Doctorate mu Philosophy,nafuna degree mu public administration  okuva mu Syracuse University e Newyork.

Mu 1961–62 Ssemogerere yalondebwa nga w’olukiiko olwakola nga Parliament mu biseera ebyo olwali lumanyiddwa nga Uganda Legislative Council oluvanyuma olwafuuka National Assembly of Uganda  eno nga yakiika yo ng’omubaka wa  Parliament eyakiikilira North Mengo.

Mu 1972, ono yasikizibwa Benedicto Kiwanuka ng’omukulembeze wa Democratic Party,oluvanyuma lw’ono okukola nga Omuwandiisi wa Parliament

Oluvanyuma lw’ekiwamba gavumenti ekyaliwo mu 1971, Ssemogerere  yagenda mu buwanganguse okutuusa mu 1979, bweyakomawo nafuuka Minister owa bakozi.

Mu 1980, Paul Ssemogerere yafuuka Ssenkagaale wa DP n’oluvanyuma naddamu okulondebwa 1984.

Mu kulonda kwa 1980, Dr Ssemogerere yesimbawo ku bwa President mu kulonda okwawangurwa Dr Milton Obote.

Ssemogerere oluvanyuma yafuuka omukulembeze w’oludda oluwabula Government mu Parliament okuva ku 1981 – 1985.

Yalondebwa nga Minister w’ensonga z’omunda mu gwanga mu bukulembeze bweyali President Tito Okello  okuva (1985–86).[3]

Yoweri Museveni  bweyafuuka President mu January 1986 oluvanyuma lw’okuwamba obuyinza, Dr Ssemogerere yaddamu okulondebwa nga Minister wa Internal Affairs (1986–88[3]),ya fuuka owa  Foreign Affairs (1988–94)  ate owa Public Service (1994–95)[1] mu kiseera kyekimu weyabelera Omumyuka wa Katikiro mu Government ya President  okuva mu 1986).

Oluvanyuma yalekulira okuva mu government mu June 1995 olw’okuba yali yesimbyewo ku bwa President oluvanyuma nawangulwa President Museveni mu

Ssemogerere nga yakiikako ne mu mukago gwa Organisation for African Unity (OAU), era yabeerako Ssentebe wa OAU Council of Ministers okuva mu 1993 to 1994.