Amawulire

Dr. Mathew Kirabo asibiddwa emyaka 30 lwa kutta eyali muganziwe

Dr. Mathew Kirabo asibiddwa emyaka 30 lwa kutta eyali muganziwe

Ivan Ssenabulya

November 21st, 2023

No comments

Bya Ruth Anderah,

Kkooti enkulu e Mukono ekalize Dr. Mathew Kirabo yebake mu nkomyo emyaka 30, oluvannyuma w’okusingisibwa omusango gw’okutta  eyali muganzi we Desire Mirembe.

Kirabo omusango gwamukka mu vvi mu mwaka gwa May  2022, neyemulula nadduka mu ggwanga, okutuusa lweyakwatibwa mu Kenya mu September,2022 nakomezebwawo mu Uganda.

Ku myaka 30 agamukaligiddwa kugiddwako omwaka gumu gweyamala ku alimanda.

Omuwaabi wa government Happiness Ainebyona abadde asabye omulamuzi, nti Dr.Kirabo awebwe ekibonerezo ky’akalabba oba okusibwa obulamu bwe bwonna, olw’ekikolwa kyeyakola eky’okutta Desire Mirembe ekyaleka ab’oluganda lwe mu nnaku.

Obujulizi bwalumika Dr.Mathew Kirabo nti yatta muganzi we Desire Mirembe eyali asoma obusawo ku Makerere University, omulambo gwe naagusuula mu bikajjo e Kawolo.

Wabula Dr.Kirabo ng’ayita mu bannamateeka be abakulembeddwamu Henry Bunya, asabye kooti emuwe ekibonerezo ekisaamusaamu ng’agamba nti luliba olwo abatta muganzi we abatuufu balizuuka.