Amawulire

Dr Byanyima bamulagidde atereeze okulondebwa kwe

Dr Byanyima bamulagidde atereeze okulondebwa kwe

Ivan Ssenabulya

March 17th, 2022

No comments

Bya Musasi Waffe

Ababaka ba palamenti batadde ku nninga akolanga akulira eddwaliro ekkulu ery’e Mulago Dr. Rosemary Byanyima okutekamu obwangu ekifo ekyo kironderwemu omukulembeze owenkalakkalira.

Bagamba nti bwekitakolebwe tekigenda kukosa byabuwereza byonna naye, kigenda kubeera kizibu, okuzuula ddala avunayizibwa ku mirimu egikolebwa.

Dr Byanyima yabadde ayitiddwa okweyanjula mu kakiiko ka palamenti aka Public Accounts Committee okwanukula ku kwemulugunya okwalabikira mu alipoota ya Ssababalirizi webitabo bya gavumenti eya 30 June 2021.

Ssentebbe wakakiiko kano, omubaka, Medard Sseggona yagambye nti kinaaba kimenya amateeka, nnyingo eya 163 mu ssemateeka wegwanga ssinga banalemererwa okanukula ku bitatambula bulungi mu ddwaliro ebyaabikira mu alipoota.

Yamulagidde nti akakase okulondebwa kwe nekifo kyamyuka kamisona kubyensimbi, basobole okunyonyola ku nsonga zino.

Byanyima yagambye nti yafuna ebbaluwa okuva mu minisitule yebyensimbi emuwa omulimu nga 15 March 2022 era anatera okutekayo okuddamu, ngakiriza omulimu guno.

Yagambye nti mu kiseera kino tanakaksibwa mu bujuvu era ebiwandiiko ebimu tasobola kubitukako okusobola okwanukula ku alipoota eno.