Amawulire

Dr. Besigye aleese ekisinde ekirala okununula egwanga

Dr. Besigye aleese ekisinde ekirala okununula egwanga

Ivan Ssenabulya

October 7th, 2021

No comments

Bya Prosy Kisakye

Ab’oludda oluvuganya gavumenti basse omukago, nebatondawo ekisinde, bagambye nti mwebagenda okuyita okununula egwanga ng’omwaka gwa 2025 tegunatuuka.

Ekisnde kino kituumiddwa People’s Front for Transition nga kigenda kukulemberwa, akulira People’s Government era eyali akulembera FDC Dr Kizza Besigye, waakumyukibwa Lord Mayor wa Kampala Erias Lukwago.

Muno mwegatiddwamu ebibiina byobufuzi ku ludda oluvuganya gavumenti okuli FDC, CP, JEEMA, aba DP block omuli Social Democratic Party ne UYD saako UPC ekiwayi ekikulemberwa Peter Walubiri.

Wlaiwo nebibiina ebirala ebigenda okukola nga kalabalaba okuli PPP, ANT, neba nkayewa.

Bwabadde ayogerera mu kutongoza eisinde kino, pulezidenti wa FDC Patrick Amuriat, agambye nti baazudde ngakululu kokka tekasobola kukyusa bukulembeze.