Amawulire

DPP ayagala kutwala musango gwa Mabirizi ne Bobi

DPP ayagala kutwala musango gwa Mabirizi ne Bobi

Ivan Ssenabulya

October 8th, 2021

No comments

Bya Ruth Anderah

Ssabawaabi wa gavumenti asabye kooti ya LDC okubakiriza, batwae omusango gwa Hassan Male Mabirizi, gweyawawabira akuliraekibiina kya National Unity Platform.

Mu musango guno Mabirizi, yawawabira Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyiddwa nga Bobi Wine, ngawakanya engeri gyeyayingiramu e Makerere, atuuke okusoma nokutukirwa Diploma mu Music Dance and Dram.

Agamba nti yayita mu lukujjukukujju, kubanga yali muto, nga tanaweza myaka egimusobozesa okuyingirira ku nsoma eyobukulu.

Agamba nti yali akysyinza okuyita mu kusoma okwabulijjo, nategendera ku ntekateeka ya mature age entry.

Omulamuzi wedaala erisooka ku kooti eno, Augustine Alule kati omusango agwongezaayo okutukira ddala nga 7 Novemba lwanasalawo ku kusaba kwa Ssabawaabi wa gavumenti.

Omuwandiisi webyenjigiriza e Makerere, Alfred Masikye agamba nti amateeka galagira omuyizi okuyingirira ku mature age entry ngalina emyaka 25 wabula Kyagulanyi weyayaingirira yali tanagiweza.