Amawulire

DPP agobye omusango gwómubuvuka agambibwa okugibwamu ensigo

DPP agobye omusango gwómubuvuka agambibwa okugibwamu ensigo

Ivan Ssenabulya

November 22nd, 2022

No comments

Bya Juliet Nalwooga,

Ofiisi ya Ssabawaabi wa gavumenti eragidde ekitongole ekikessi ekya Criminal Intelligence okuggala fayiro y’omusango omuvubuka Mahmood Kabanda mwe yali ayagalira abakozi b’eddwaliro lya Old Kampala bavunaanibwe kubigambibwa nti bamugyamu ensigoye awatali lukusalwe.

Mu bbaluwa ya ssabawaabi wa gavt gyeyawandikidde akulira CID, agamba tewali bujulizi bumala kuleetera bakozi ba ddwaaliro lino kuvunaanibwa songa okunonyereza era kwalaga nti Kabanda yazaalibwa n’ensigo emu.

Mu September, Kabanda ng’ayita mu munnamateeka we Erias Lukwago, yalumiriza eddwaaliro lya old Kampala, okumugyamu ensigoye bweyali agenze okujanjabibwa obuvune bweyafuna nga agudde ku kabenje.

Agamba nti bweyadda engulu nga bamaze okumulongoosa ku mutwe yalina ate ekiwundu ku lubuto okuliraana awalina okuba ensigo era bweyaddukira mu malwaliro amalala okumwekebejja bamutegeeza nti ensigoye emu yagibwamu.

Kyokka okunonyereza kwa basawo kwo kulaga nti ono yazaalibwa nensigo emu.