Amawulire

DP yakunaabira mu maaso abakulembeze abagaanye okukkiririza mundowooza yabwe

DP yakunaabira mu maaso abakulembeze abagaanye okukkiririza mundowooza yabwe

Ivan Ssenabulya

July 25th, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Ekibiina ekivuganya gavumenti ekya Democratic Party kigamba nti tekirina kyakukola okuggyako okugoba abakulembeze abagaanye mu bugenderevu okutegeera ebirubirirwa bye kibiina.

Kino kiddiridde ababaka ba palamenti aba DP okukkaatiriza nti endagaano y’okukolagana ne gavumenti ya NRM eyassibwako omukono wakati wa pulezidenti Museveni era nga ye Ssentebe w’ekibiina ekiri mu buyinza ekya NRM ne Pulezidenti wa DP, Nobert Mao omwaka oguwedde yali wakati w’abantu bano bombi so si okukiikirira kibiina kya DP.

Bwabadde ayogerera mu lukung’aana lwa bannamawulire ku kitebe ky’ekibiina akawungeezi ka leero, omumyuka wa pulezidenti wa DP, Fred Dennis Mukasa Mbidde, ategeezezza nti ekibiina kino kyatandise okumanyisa bammemba baakyo okwetoloola eggwanga ku ndagaano y’enkolagana eno era yayaniriziddwa mu bitundu ebyamambuka ge ggwanga.

Agambye nti bagenda mu maaso ne kampeyini eno mu bbanga ttono mu bitundu by’obuvanjuba bw’eggwanga n’oluvannyuma mu bitundu ebirala. Wabula Mbidde yewunyiza okulaba nti abamu ku babaka ba DP basazeewo obutategeera kigendererwa kya ndagaano eno.

Mbidde ategeezezza nti ekibiina kirina entekateeka eyókutuuza Tabamiruka ng’okulonda okugenda okubaawo mu mwezi gwa Ntevu tekunabaawo, bannyonnyole mu bujjuvu ku ndagaano eno  era singa ababaka ba palamenti banagaana okugigula olwo baba ba ddembe okuva mu kibiina batambule n’abo bokka abagikilirizaamu.