Amawulire

DP eyongedde okusaba NUP begatte ku IPOD

DP eyongedde okusaba NUP begatte ku IPOD

Ivan Ssenabulya

September 19th, 2021

No comments

Bya Prosy Kisakye

Ab’ekibiina kya Democratic Party basabye banaabwe bwebavuganya gavumenti, aba National Unity Platform okuddamu okukifumintirizaamu, begatte ku mukago gwa Inter-Party Organisation for Dialogue bwebanaaba baakaulwana okuleeta enkyukakyua eyanamaddala mu byobufuzi.

Aba NUP bategezezza nga bwebatajja kwegatta ku mukago gwa IPOD, nga baggambye nti tebagulabamu makulu kubanga te gukozesbewa aba NRM abali mu buyinza okubajja ku mulamwa.

Wabula ssenkaggale wa DP, Norbert Mao agambye nti tebajja kuteheera bukulu bwa IPOD ngomukago bagwesambye

Agambye nti era kinaaba kibi nnyo okulimba abantu babulijjo nti bagala enkyukakyuka awatali nteseganya.