Amawulire

DP eyagala President Museveni ayogereko eri eggwanga ku nsonga z’obutebenkevu

DP eyagala President Museveni ayogereko eri eggwanga ku nsonga z’obutebenkevu

Ivan Ssenabulya

May 10th, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye. Ekibiina ky’eby’obufuzi ki Democratic Party kisabye omukulembeze w’eggwanga  Yoweri Kaguta Museveni okuvaayo ayogereko eri eggwanga ku bigambo ebikwatagana n’eby’okwerinda ebilabika nga bizzeemu okuteeka obulamu bwa banna Uganda mu katayabaga.

Kiddiridde ettemu elibaddewo sabiiti ewede elyalese nga Minisita Omubeezi avunanyizibwa ku nsonga z’abakozi Charles Engola, ne Jjaja Ichuli nga zembuyaga ezikaza engoye.

Kati akulira ekiwayi ky’abakyaala mu kibiina ki DP, Aisha Waligo, agamba nti omuwendo gw’emmundu mu bantu abakyamu gwandiba nga gweyongedde ekyongera okuteeka obulamu bw’abanna Uganda mu matigga.

Mu ngeri yemu , okunoonyereza ku ttemu elyakoleddw aku Jjaja Iculi, Poliisi egamba nti kati ekututte mukwetegereza masimu gamukubirwa ng’ali mu kifo webamuttira mu bitundu eby’e Kyanja.

Ab’eby’okwerinda bagamba nti baagadde okukakasa embozi eyasembayo nebyeyali ekwatako okwongera okufuna obujulizi obulumika abaali mu lukwe lw’okutta Iculi.

Ichuli yakubwa masasi agamuttirawo e Kyanja ku lunaku lw’omukaaga ekiro wabula n’okutuusa kati ekyamuviirako okuttibwa kikyali matankane.

Ono yaziikibwa ku lunaku lwa Sunday e Nkokenjeru mu district eye Buikwe.

Yye Minisita Engola leero omulambo gwe lwegutwalibwa mu maka ge e Kyanja gyegugenda okusula n’oluvanyuma enkya ku lw’okuna gwakutikkibwa ku nyonyi gutwalibwe mu maka ge ag’omukyaalo mu district eye Oyam.

Ono nga y’abadde omubaka wa Oyam County North mu Parliment ku ticket y’ekibiina ki NRM, wakusiikibwa ku lunaku lw’omukaaga olwa sabiiti eno.