Amawulire

DP efunye nampala omupya

DP efunye nampala omupya

Ali Mivule

August 4th, 2015

No comments

File Photo: Presidenti wa DP Nobert Mao

File Photo: Presidenti wa DP Nobert Mao

Ssenkaggale w’ekibiina kya Democratic Party Norbert Mao asudde omubaka  Sebuliba Muddu Awulira ku bwa nampala w’ekibiina n’amusikiza mubaka munne akiikirira ab’e Kalungu Joseph Ssewungu.

Mao ategezezza nga ekisanja kya Ssebuliba byekyaggwako kale nga kyekiseera okumisikiza omuntu omulala.

Bw’abadde ayogerako eri bannamawulire ku kitebe ky’ekibiina ku  City House, Mao era ategezezza nga ye bw’ali omumalirivu okugatta bamemba b’ekibiina bonna era neyetondera loodi meeya wa Kampala Erias Lukwago olw’ebisongovu byeyamuwerekereza nga bafunye obutakkanya.

Mao ategezezza nga obusungu bwebwamuwaliriza okukola kino wabula nga teyagenderera kumuvvoola.

Ategezezza nga enteseganya z’okutabagana n’ekiwayi kya Lukwago bwezikyagenda mu maaso nga era loodi meeya Lukwago essaawa yonna wakulabikako ku kitebe ky’ekibiina okutwala ekibiina mu maaso.