Amawulire

DP bawakanyizza ekiragiro ku masinzizo

DP bawakanyizza ekiragiro ku masinzizo

Ivan Ssenabulya

September 29th, 2021

No comments

Bya Prosy Kisakye

Ab’ekibiina kya DP bagasse ku balala, abasaba nti gavumenti eddemu okwetegereza ebiragiro ebyayisbwa ku masinzizo.

Mu kwogera kwe, wiiki ewedde omukulembeze wegwanga yaggulawo amasinzizo wabula nakugira omuwendo gwabantu abalina okusaba tebatekeddwa kusukka 200.

Wabula kino abamu bakyaniriza ate abalala nebakiwakanya nga bagamba nti omuwendo gwandikyuse okusinziira ku bugazi bwebifo ebisabirwamu

Kati omwogezi wekibiina kya DP Okoler Opio agambye nti biragiro ku masinzizo byetaaga okuddamu okwkenneenya.