Amawulire

Denmark ewadde Uganda eddagala eddala

Denmark ewadde Uganda eddagala eddala

Ivan Ssenabulya

December 23rd, 2021

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Uganda eriko eddagala eddala erigema ssenyiga omukambwe lyefunye, enkata okuva mu gavumenti ya Denmark.

Kuno kuliko doozi emitwalo 48 mu 4,000 eryekika kya Moderna nga lyakutuuka kuno nga 30 Decemba.

Kino kitundu ku ddagala doozi awamu emitwalo 74 mu 2,000 bano lyebawadde Uganda okulwanyisa ssenyiga omukambwe.

Eddagala eryasooka doozi emitwalo 25 mu 8,000 erya Oxford-AstraZeneca lyatuuka nga 14 Decemba.

Eddagala lyonna lijjira wansi wa COVAX facility

Omubaka wa Denmark mu Uganda, Nicolaj Petersen agambye nti obuyambi buno, bwankizo nnyo mu kulwanyisa COVID-19.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *