Amawulire

COVID-19: Omwaka guweze mulamba

COVID-19: Omwaka guweze mulamba

Ivan Ssenabulya

March 21st, 2021

No comments

Gavumenti esabye banna-Uganda obutapondooka, wbaulaokugenda mu maaso okwetangira ebirwadde ebisoboka nga bakozesa ekyokuyiga kya ssenyiga namutta COVID-19.

Olwaleero omwaka lweguweze omulamba okuva Uganda leyafuna omulwadde eyasooka, bwezaali nga 21 March omwaka 2020.

Ono yali musajja owemyaka 36, omutuuze we Kibuli mu Kakungulu zone mu kibuga Kampala.

Ono yali taambudde nakomawo mu gwanga okuva e Dubai nga 17 March era yali musubuzi.

Kti bwabadde ayogera ne bannamawulire mu lukungaana lwa buli gandaalo, minister wamawulire Judith Nabakooba atebederezza nti olwemirmu emingi egikoleddwa nokumanayis abantu, egwanga lisobodde okukendeeza ku balwadde abappya aba buli lunnaku okuva mu 300 kankano okudda ku 20.

Wano wasabidde abantu okwongera okulwanyisa ekirwadde kino, nga bambala mask, okwewa amabanga, ate nokulya obulungi nebirala.

Mu bbanga lino eryomwaka omulamba, Uganda efunye abalwadde emitwalo emitwalo 4 mu 651 songa abantu 334 bebafudde.