Amawulire

Congo ekiriza Uganda okutwalayo amagye okulwanyisa ADF

Congo ekiriza Uganda okutwalayo amagye okulwanyisa ADF

Ivan Ssenabulya

November 29th, 2021

No comments

Bya Musasai Waffe

Democratic Republic ya Congo kitegezeddwa nti bagenda kukiriza amagye ga Uganda, okuyingira ku ttak lyabwe okulwanyisa abayekera, abazze betaba mu bikolwa byobutujju.

Obubinja bwabalwnayisa nabayekera, obusinga bwekukumye mu bitundu omuli ebyobugagga ebyomuttaka wabula eno naba Allied Democratic Forces (ADF) gyebasinziira okutta abantu.

Omuwabuzi womukulembeze wegwanga lya DRC, ategezezza aba AFP nti pulezidenti Felix Tshisekedi yamaze okukiriza entekateeka eno egende mu maaso.

Kino agambye nti kigenda kukolebwa, ngagambye nti tebagenda kusala nsalo olwaleero oba enkya naye buli mitenderea gitekeddwa okugogererwa.

Amawulire galaga nti entekateeka kati zigenda mu maaso, Uganda okusindika amagye e Congo.

Essaawa yonna, tugenda kwogera nabobuyinza mu Uganda okwanukula ku bino.