Amawulire

Byarugaba agibbwako essimuze ziyambeko poliisi mu kunonyereza

Byarugaba agibbwako essimuze ziyambeko poliisi mu kunonyereza

Ivan Ssenabulya

February 11th, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Akakiiko ka Palamenti akatekebwawo okunoonyereza ku mivuyo egiri NSSF kakwasizza erikitongole kya bambega ekya CID essimu bbiri ez’eyali akulira ekitongole kino, Richard Byarugaba n’eya akulira ebyensimbi Stephen Mwanje okwongera okunoonyereza ku mawulire agakontana agabaweebwa  mu kakiiko kano .

Kino kiddiridde akakiiko akakulemberwa Omubaka Mwine Mpaka, okukizuula nti abaddukanya NSSF baasaasaanya akawumbi kamu n’obukadde 800 ku nsimbi z’amakampuni ku mbeera z’abantu kyokka nga tewali mbalirira ku ngeri ssente zino gye zaasaasaanyizibwamu.

Mpaka yakunyiza Byarugaba annyonnyole engeri ensimbi zino gye zaakozesebwamu oluvanyuma lwa buntu gwe bayogeddeko nabo okubategeeza nti bbo bamanyi bukadde 800 bwokka obwakozesebwa so si 1.8bn

Byarugaba yakkirizza nti kituufu obukadde 800 zezasaasaanyizibwa mu bibiina bya bakozi wabula nagamba nti akawumbi bakanya ne ministule kungeri gyekalina okusasaanyizibwa

Ebigambo bye byawakanyizibwa Mwanje eyali akulira ebyensimbi kyokka Byarugaba n’afulumya obubaka bwa WhatsApp ku ssimu ye ng’alaga nti Mwanje azimanyiko era yabayambako mu kuzisaasaanya.