Amawulire
Byabasaijja awakanyiza alipoota
Bya Prossy Kisakye
Ekitongole kya makomera kyesambye ebigambibwa nti kityoboola eddembe lya basibe.
Okusinzira ku alipoota eyakafulumizibwa ebibiina ebirwanirira eddembe lyobuntu munsi yonna abasibe mu makomera wano mu ggwanga balisibwa akakanja.
Akulira ekibiina kyomukago gwa European Union Atilio Pacifc agambye nti embeera eno yeyolekera nyo mu biseera ebyokulwanyisa ssenyiga omukambwe
Wabula mu kumwanukula akulira amakomera wano mu ggwanga Dr Johnson Byabashaija ategezeza nti ebyogerebwa tebirina matu na magulu kuba abasibe babayisa bulungi nyo.
Mungeri yemu Atilio asabye abakulira amakomera okukolagana ne bitongole bya gavt ebirala okunogera eddagala ekizibu kyomujjuzo mu makomera