Amawulire

Busoga ebanja byaayo.

Ivan Ssenabulya

December 4th, 2017

No comments

Bya Abubaker Kirunda.

 

Katikiro wa Busoga Joseph Muvawala asabye  abantu bona abali mu bintu bya Busoga mubukkyamu okubyamuka.

Owek.Muvawala  agamba nti obw’akyabazinga bulina entekateeka ez’okukozesa ebintu bino, kale nga kyetaga okubyamuka bikozesebwe.

Ono agamba nti eby’obugaga gamba nga obutale, etaka, emyalo ko n’ebirara bikozesebwa abantu abatalina kyebazza eri obw’akyabazinga, kale nga bano bagwana okwesegula.