Amawulire

Bus eyingiridde abasubuzi ewa Kisekka

Ivan Ssenabulya

February 7th, 2018

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Ebyentambula bisanyaladde okulinaana akatale ka Kisekka mu Kampala, oluvanyuma lwakabenje akagudde ku luguudo Kyaggwe.

Bus eya kampuni ya KAKISE namba UAS 437/P eremeredde omugoba waayo nesabala abasubuzi ababdde ku mabbali goluguudo.

Bus kisubirwa nti efotodde abantu abawerako, abatanaba kukakasibwa muwendo.

Poliisi mu kaseera kano ekyagezaako okujjayo mmotoka eno nokujjayo emirambo, oba nabakyali abalamu.