Amawulire

Bus ekutte Omuliro

Ivan Ssenabulya

October 5th, 2017

No comments

Bya Magembe Sabiiti

Abantu abasoba mu 50 basimatuse okufira mu kabenje ka motoka oluvanyuma lwa Bus ya kampuni ya LINK mwebabadde batambulira okwabika omupiira oluvanyuma nekwata omuliro nesanawo.

Akabenje kano kagudde ku kyalo Luswa mu gombolola ye Myanzi e Mubende nga Bus eno ebadde eva Kampala okudda e Bwera.

Addumira police mu bitundu bya Wamala, Chris Balugahare akakasizza nga bwewatali muntu yena alumizidwa mu kabenje kano wabulanga Bus yona esanyewo.