Amawulire

Bukenya ssiwakwetaba mu kamyufu

Bukenya ssiwakwetaba mu kamyufu

Ali Mivule

July 3rd, 2015

No comments

File Photo : Bukenya nga bamusitudde

File Photo : Bukenya nga bamusitudde

Eyali amyuka omukulembeze w’eggwanga Prof Gilbert Bukenya agamba nti ssiwakwetaba mu kamyufu ka NRM

Bukenya bino abyogeredde mu Lukiiko lw’eokwebuuza ku ba memba b’ekibiina kye ekya National Transitional Party mu maka ge e Kakiri mu disitulikiti ye Wakiso.

Prof Bukenya agambye nti mu kaseera k’akamyufu ka NRM, wakuwandiikira ssabawandiisi w’ekibiina kyaabwe okumunyonyola lwaki takyasobola kukolagana nabo.

Prof Bukenya asabye bannayuganda obutakuliriza bibiina wabula bassa essira ku kyokulaba nti wabaawo gavumenti y’ebiseera ng’eggwanga likyusa obukulembeze.

Ono agamba nti yadde teyajjusa kukolagana na NRM, ekibiina kisusse okusuubiza empewo.

Azzeemu okukirambika nga bwebatakkiririza mu pulezidenti Museveni obutavuganyizibwa