Amawulire

Bugnda ekwataganya naba Uganda Aids Commission okulwanyisa mukeneya

Bugnda ekwataganya naba Uganda Aids Commission okulwanyisa mukeneya

Ivan Ssenabulya

October 5th, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Obwakabaka bwa Buganda butuuse kuntegeragana n’ekibiina ekirwanisa mukenya mu Uganda ekya Uganda Aids Commission, okukolera awamu okulwanisa mukenya mu Buganda ne Uganda yonna okutwaliza awamu omwaka 2030 gugende okutuuka nga obulwadde buno bufuuse lufumo.

Bwabadde atongoza enkolagana eno wano e Bulange e Mengo, Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga, agambye nti obwakabaka bugenda kulwana okutuusa amawulire amatuufu agakwata ku bulwadde buno mu bantu nga beyambisa amakubo agasoboka omuli n’obuwangwa n’ennono.

Ssentebe wa boodi ya Uganda Aids Commission, Dr Eddie Mukooya, yebaziza empolologoma ya Buganda olw’omulimu amakula gwakola mu kulwanisa obulwadde bwa Mukenya naddala mu kukumakuuma abavubuka okwerinda obulwadde buno era ategezeza nti betegefu okuwaayo kyebalina okuggusa olutalo luno.

Ebibalo bya Uganda Aid Commission bye banjulidde Katikkiro biraze nti omwaka 2020 we gwagwereddeko nga mu bitundu bya Buganda district ye Kalangara yesinga abalwadde ba mekenenya abangi abali wakati w’emyaka 15-49 nga bakola ebitundu 18.8%, Kalungu ne Masaka basibanye ku bitundu 11.7%, Kyotera bali kubitundu 11.1%, Lyantondo bakola ebitundu 10.1%, Kampala ne Wakiso basibaganye ku bitundu 7.7% nabalala.