Amawulire

Buganda yakutta omukago ne America ku byamazzi.

Ivan Ssenabulya

March 13th, 2018

No comments

Bya Shamim Nateebwa.

 

Obwakabaka bwa Buganda nga buyita mu kitongole kye by’obulimi ekya BUCADEF, bwakutta omukago n’ekibiina kya Wells of Life okuva mu America n’ekigendererwa eky’okubunyisa amazzi mu bitundu bya Buganda ebyenjawulo.

Katikkiro wa Buganda Charlse peter agambye ekintu ekisinze okunafuya enkulaakulana mu Uganda, ly’ebbula ly’amazzi, kale nga okujja kwabano mukisa munene.

Agambye nti aba Wells of Life baagala okubunyisa amazzi mu bitundu eby’enjawulo olwo abantu bafune amazzi aganaabayamba okukuuma obulamu bwabwe.

Nick Jordan Pulezidenti w’ekibiina kino, ategeezezza nti ebbanga ly’amaze mu Uganda akizudde nti waliwo ebbula ly’amazzi ekintu ekiviira abantu okufa wamu n’ebisolo byabwe.
Amasaza agagenda okusooka okuganyulwa mu nteekateeka eno mulimu; Buluuli, Mawogola ne Kooki nga gano gakosebwa nnyo ekyeeya.