Amawulire

Buganda ya’kusalawo ku kyo’kuddabiriza Olubiri

Ivan Ssenabulya

May 14th, 2018

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Obwakabaka bwa Buganda bugamba bwakutunula mu kusaba okuliwo okuddabiriza olubri lwa Ssabasajja e Mengo.

Kino kikakasiddwa Kamalabyonna wembuga Charles Peter Mayiga, bwabadde ayogerera mu lukiiko lwa Buganda olukyagenda mu maaso amakya ga leero.

Ategezeza nti bangi bakoze okusaba ku nsonga eno, kubanga olubiri lubaddewo myaka na myaka, kalenga lwetaaga ekifananyi ekigya.

Kattikiro era atagezezza nti abamu basaba wabangibwewo eddwaliro gagadde ne Bank ya Buganda, wabulanga byonna bakubitunulamu.

Ate abaganda abawangaliira mu America baliko mmotoka, ya Ambulance gyebawaddeyo eri Obwakabaka bwa Buganda.

Kattikiro ategezeza nti mmotoka eno yatuuse dda, wabulanga ekyalina okusasula emisolo eri aba URA.