Amawulire

Buganda n’ekkanisa ya Uganda batusizza okusasira eri egwanga

Buganda n’ekkanisa ya Uganda batusizza okusasira eri egwanga

Ivan Ssenabulya

November 17th, 2021

No comments

Bya Prosy Kisakye

Obwakabaka bwa Buganda batusizza okukungubaga eri egwanga, nabafirirddwa abaabwe nokukosebwa mu bulumbaganyi bwa bbomu ezakubiddwa mu kibuga wakati olunnaku lweggulo.

Omwogezi wobwakabaka bwa Buganda Owek. Noah Kiyimba, agambye nti bavumirira ebikolwa ebyokutta ba ssalumanya.

Wabula asabye abebyokwerinda okukola okunonyereza okwanamaddala, abakoseddwa nokufiirwa bafune obwenkanya nokulaba nti obutali butebenkevu buno bukoma.

Mungeri yeemu, Ssabalabirizi w’ekkanisa ya Uganda Dr Samuel Steven Kazimba Mugalu akunze bannaYuganda, okusaba egwanga libukalemu emirembe.

Agambye nti egwanga terisanye kumamirwa butali butebenkevu nomwoyo gwokutya.

Bino abitadde mu bubaka bwe obwokusasira eri egwanga olwebikolwa byobutujju ebyatusiddwa ku gwanga, olunnaku lweggulo.

Agambye nti abantu basaabye okusabira nabakikoze benenye, bade eri Katonda abasonyiwe ebyonoono byabwe.