Amawulire

Buganda : Muvunaane abatta abeekalakaasi

Ali Mivule

September 10th, 2014

No comments

Buganda riots 3

Abalwanirizi b’eddembe ly’obuntu bakangudde eddoboozi ku kya gavumenti obutabaako ky’ekolera abakuumi abatta abaali beekalakaasa olw’ensonga za Buganda.

Okwekalakaasa kuno okwaddirira omutanda okugaanibwa okugenda e Bugerere kwaleka abantu abasoba mu 20 nga battiddwa

Omunonyereza n’ekibiina ekirwanirizi ky’eddembe ly’obuntu ekya Human Rights Watch Maria Burnett agamba nti yadde gavumenti esuubizza okuvunaana abakuuma ddembe abatta abantu mu kwekalakaasa kuno, teri n’omu yali avunaaniddwa.

Burnet agambye nti abaviibwaako abantu baabwe balina okufuna obwenkanya

Kkwo okwekalakaasa okwategekeddwa abavubuka e Kayunga kugudde butaka oluvanyuma lwa poliisi okulinnya eggere mu nteekateeka eno

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *